Bakulu Boka: ZIIZINO ENSOGA EZILEETELA OMWAGALWAWO OKWEETAMWA WAMU NOKUKYAAWA MUBUNAMBILO

By: Muto wa senga: Obufumbo oba kale omukwaano kyekimu kubintu byotasobola kwewala kakibe kikki, wabula, ensangi zino abantu basusse okusuulawo abagalwa babwe wamu nokukyaayibwa olutatadde

Leelo tugenda kulaba ensonga enyangu ezileetela omwagalwaawo okwetamwa nokutuuka ekiseela okukusuulawo nga talina gweyeebuzizaako.

Empisa kintu kikulunyo mumukwaano ella omuntu bwaaba talina mpisa mubutuufu obufumbo bubeela bukulemye. Kumma empisa ella nga eno yensonga enkulu elesaawo abantu, omukazzi oba omusajja atalina mpisa kizibu okufuna omuntu gwaabela naye lubeelela.

Obwenzi obutatadde nakyo saagala tukisuule muguluka. Omwaami oba omukyaala omwenzi banange anyiya omukwaano. Banange tufube okulaba nga tweekuma bulunji, obwenzi tubwesonyiwe kuba tugenda kukomekelela tulekedwaawo abantu abanditwagadde lubeelela olwokuba twagala okunonooza ewalala

Okunonooza, banange twesonyiwe okunonooza kunsonga zabantu baffe ezaayita. Bwononoza ebitakukwaatako ojja kukomukeleza nga ozudde ebintu ebyaayita okukakana nga bikunyiiziza ella mukaseela katono nga omu akyaaye munne

ensonga endala ziizino

Please follow and like us:
error0
Loading...