Omuyimbi omusaazi saazi ear nga ono alinga comedian Apass avuddeyo nategeeza nti waakuyamba omukulu Moses Ssali era nga ono amanyikiddwa nga Bebe Cool ne munne Joseph Mayanja ono ye nga tumumanyi nga Chameleon okwedaabulula mu kukuba bannayuganda omuziki kubanga mbu kati tebakyakuba nnyimba bali mu muzannyo
Apass agamba nti ababiri bano bagezezaako nnyo okubeera wagulu naye bambi balemereddwa mbu era baagwa ekigwo kya maanyi era mbu bwe baali bagwa baagwa mu kateebe
Ono nno teyakoma awo yagambye mbu Bebe Cool ne Chameleon balemereddwa okubeera ebaamayi nga munaabwe Bobi Wine era naayongerezaako nti kati naye abeesingira mu kukuba omuziki era mbu kati tebamuwunyamu
Olowooza Chameleon oba Bebe Coll waliwo obuyambi bwe bayinza okwetaaga ku Apass?