Ako ka Sheillah Gashumba nali nkaagalako sente mpozzi neekirala nali muto.-Fik Fameica awanze omuliro eri eyali omwagalwa we

Omuyimbi nga ono ajukirwako ekivvulu okumusala nga ekya Gen Mega Dee era nga ono ye Fik Fameica leero avuddeyo naatubuulira kiki ddala kyeyali ayagala ku kamu ku buwala akatava ku mikutu gyimunaayiza wala era nga ke ka Sheilah Gashumba.

Ono nno atubuublidde nga bwe yali akaagalako sente kuba ye ebiseera eyo yali mwavu ddala naye nga yeetandika era nga omuvubuka omulala.

Teyakomye okwo naatutegeeza era nga ye bweyali omuto okwagala akantu bwekatyo naye singa ssi ekyo teyaalikaagadde.

Kinajukirwa nti Gashumba yeeyakyawa Fik naabuukira God’s plan era ne Fik natambula gage era nga nebuno buli tatulaga ngayo muwala mulala.

Recommended For You

About the Author: admin