Eddy Kenzo alaajanidde Rema Namakula era mu maziga amangi naamusaba okusigala nga ayagala muwala we Maya kubanga ye gwamanyi nga nnyina yekka

Omuyimbi Eddy Kenzo avuddeyo naatutegeeza ku nkolagala wakati wa muwala we era nga ye mwana we omukulu Maya neeyali muganzi we Rema Namakula era nga wano waatugambidde nti Maya atwala Rema nga maama nookusinga nnyina amuzaala.

Kenzo agenze mu maaso naasaba Rema Namakula okusigala nga ayisa omuto Maya nga nnyina era nga kino kyekijja okusinga okumusanyusa era ekijja okumuleetera obutejjusa kaseera keyamala naye

Kijjukirwa nti Rema ne Kenzo baayawukana oluvannyuma lwa Rema okukikubawo nti yali afunye omusajja omupya era nga ono ye Hamza Ssebunnya.

Recommended For You

About the Author: admin