Banange sinze yatta Mowzey Radio. Nali mutaasa kwabo abaamutta. Wuuno kanyama ateeberezebwa okukuba omugenzi Radio anyonnyodde kkooti biki ebyali mu bbaala.

Omusajja ateeberezebwa okutta omuyimbi Moses Ssekibogo eyali amanyikddwa ennyo nga Mowzey Radio avuddeyo neyeegaana okubeera nga yeenyigira mu kutemula eyali omuyimbi wa Goodlyf ono.

Mukwewozaako kwe mu kkooti enkulu Entebbe, Godfrey Wamala nga ono amanyikiddwa enyo nga Troy agamba nti kulunaku olwo nga 22 gatonnya 2018, Radio yabayiira omwenge ku meeza kwe baali nga kwogasse nookubavuma.Kino kyanyiza manager we bbaala lino George Egesa era nasituka okulwana ne Radio wabula mbu Troy nabataasa.

Mulutalo olwo, Radio yatandika okulwana nabului omu era ekyaleetera mbu okumufulumya ebbala mbu naye mukumufulumya baddamu okulwana naye era mbu ye Troy naagezaako okubataasa naye nebimulema era naalinnya Boda agende alabe omuntu gweyalina okusisinkana era nga ono yali O.C wa katabi poliisi station.

Bweyabuuziddwa oba alina ekyokwongerako yabagambye nti ye yali ayagala kuyamba Radio butakubwa naye tajjukira nakumukwatako.

Recommended For You

About the Author: admin