Poliisi emaze nezuula Bobi Wine era nemukwata nga ekyonziira bwabadde ajitoloseeko okugenda ku kivvulu kye ekya osobola ku One Love beach e Busaabala

Poliisi emaze neezuula Bobi Wine ono nga abadde akukusibwa okugenda ku kivvulu kye ekya Osobola ku one love beach e Busaabala

Poliisi yakedde kuyiwa basajja baayo ku maka ga Bobi Wine agasangibwa e Magere ku Gayaza road naye eno yabakubye ekimooni bwe yabatoloseeko era nabuzibwawo aba Boda

Poliisi nayo teyakaayanye yamuteeze ku kidda Busaabala era abadde akukusibwa nebamusalako okukakana nga bamuyodde era tekimanyikiddwa wa jatwaliddwa naye nga ye bamukutte.

Please follow and like us:
error0
Loading...