Rema yangoba mu kukyala kwe ne bba ate nga nze nalina okubeera senga kuba namukuza era ne mufuula kyali. Halima Namakula avuddeyo naalya obuwuka eri muwala we Rema

Omuyimbi omu ku ba kaasangwawo mu Uganda Halima Namakula avuddeyo neyeemulugunya ku muwalawe gwe yakuza Rema Namakula olwokumugaana okwetaba mu kukyala kwa bba Hamza Ssebunnya ate nga yeeyamukuza era naamufuula kyali

Kigambibwa nti Halima yeeyalina okubeera senga naye Rema yavaayo naapangisa senga omulala era Halima ye ne bamugobera ku mulyango era tebaamuganya kuyingira

Kigambibwa nti ekyaganya Halima okuyingira bwali butayagala Dr Hamza era mbu yali agaanye Rema okumukyaza naye Rema naawalaaza empaka era naamukyaza

Kati nno ffe tulinze kwanjula tulabe oba nga anaabayo

Recommended For You

About the Author: admin