Jose Chameleon avumye Eddy Kenzo obussiru oluvannyuma lwa Kenzo okugenda naasisinkana Museveni

Nga ebula mbale akalulu ka 2021 katandike okusabibwa, omuyimbi Eddy Kenzo yagenze naasisinkana muzeeyi Museveni mu state House era nebabaako bye bawayaamu nga abakulu naabakulu

Kino kirabika tekyasanyusizza bayimbi bamu nga mwemwabadde ne munna DP Dr Jose Chameleon era nga ono yavuddeyo naawa endowoozaye ku nsisinkano ya Kenzo ne Muzeeyi

Ono yavuddeyo naategeeza nga bwekiri ekyobwenyamivu abayimbi okufuulibwa abasabiriza ate nga basobola okwekolera mbu era kyabussiru nnyo

Kino nno kyeraze lwatu nti mukulu Chameleon yabadde ku muyimbi munne Eddy Kenzo

Loading...