Wandeka olowooza sirifuna mulala:- Eddy Kenzo awanze omuliro eri Rema Namakula oluvannyuma lw’omukozi wa Spark Tv okuvaayo naategeeza nga bwe beekuba amatooke

Omukozi wa Tv emu wano mu ggwanga nga ono nga eno Spark ate nga omukozi ye Precious Remmie nga akola ku program ya Live wire kigambibwa nti baatandise okwekoona n’omuyimbi eyaakakyayibwa Eddy Kenzo

Kiganbibwa nti bino byonna byatandise wiiki ewedde nga Kenzo bweyakola olukungaana lwa bannamawulire nga muno mwagenderamu ne Remmy. Kigambibwa nti ababiri bano baggalirwa mu kisenge okumala essawa emu nga olukungaana telunatandiika era ebyakolebwa tebyategeerekeka

Okusinziira ku mukozi omu okuva mu wooteeri ya Mestil e Nsambya, Remi yalabibwa olunaku olwaddako ku woteeri eyo olunaku olwaddirira ate nga Kenzo naye yavaayo nkeera

Please follow and like us:
error0
Loading...