Frank Gashumba wuuno ayogedde kiki kyekitwala okuwasa muwala we Sheillah Gashumba

Tukimanyi bulungi nti Franka Gashumba taata mukambwe nnyo naye ate kino tekigaanye muwala we Sheillah Gashumba kwewaggula bwekijja ku nsonga z’okuganzibwa era n’okuganza abasajja

Frank Gashumba yagaana okukkiriza Fik Fameica nga omuko ate nga kirabika bwekityo bwekiri ne ku muganzi wa Shellah aliko kati nga ono ye Marcus oba muyite God’s Plan

Frank agamba nti ye nga onaawasa muwala we kimutwalira omwaka mulamba nga akwekeneenya, nga akutadde mu kasengejja era nga wwa woyinza okuteeka muwala we.Yeekeneenya ebiruubirirwa byo era nga bwebiba tebirina makulu nga akugoberawo.

Recommended For You

About the Author: admin