Omuyimbi Moses Ssali nga ono amanyikiddwa nnyo ngaBebe Cool jebuvuddeko yavaayo ku Tv emu naagamba nti ye yakuzibwa maama we sso si kitaawe era ye omukwano gwa taata teyagufunako okuva ewa kitaawe Jabeli Bidandi Ssali
Ensonda ennekusifu zivuddeyo neziraga ensonga lwaki Bidandi Ssali yali tafa ku Bebe Cool era okusinziira ku omu ku taata ba Bebe Cool abato yavuddeyo nategeeza nti Bidandi yazaala Bebe naye nga teyeekakasa nti mwana we
Kigambibwa nti Bidandi bweyazuula nti Bebe mwana we bwoya natandikira awo okumwagala era yamwagala nnyo naamuwa neebimu ku by’obugagga bwe