Omukozi w’oku tv emu wano mu gwanga nga ono ye Zahara Toto ebiseera ebiyise emabega abadde akyekola anti nga sente atandise kuziyita thente olw’ensonga nti omwagalwa abadde amuwa buli kyayagala
Kaakati omulimu Big Papa gwakola gussuse nti ono mumenyi wa mateeka kungwe era nga yali mubbi wa banka mu Australia emyaka ena egiyise emabega
Kigambibwa nti ono yakozesa nga cheques enzibe naateeka sente ku ku accounts ze ezenjawulo
Ono yabba mu banka nga Sushine, Burwood East ne Melbourne CBD era anoonyezebwa