Bizuuse!!!! Biibino ebireese enjawukana wakati wa Pallaso ne mukulu we Chameleone

Kimanyikiddwa bulungi nti ababiri bano baaluganda ddala mu maama ne taata era nga bano babadde batambula bonna nga omu waava omulala ekigere wakiteeka naye weeks nga bbiri emabega kirabika nga sibweguli kati naye ekyebuuzibwa kiki ekyagala okubaawula

Ababiri bano babade mu studio nga bali mu kukola luyimba lwebatanatuuma linnya era nga ekireese obuzibu bwe ddi oluyimba luno lwe lufuluma

Pallaso ye yabade ayagala oluyimba luteebwe mu feb w,omwaka guno ate nga ye Chameleone ayagala lufulume mu makati g’omwaka guno.

Chameleone ayagala oluyimba luno lubeere lumu kwezo eziri ku Album ye empya era nga oluyimba luno kigambibwa nti baalukola ne Hamonise ow’e Tanzania

Bano baakola oluyimba olwa Hana Remix era nga luno lwabakolera bulungi nnyo bonna

Loading...