Winnie Nwagi ayogedde ku nkolagana ye ne Chosen Blood gyebalina wakati waabwe

Abayimbi Winnie Nwagi ne Chosen Blood ennaku zino kibadde kiwanuuzibwa nti bagabana amazzi bombiriri era nga kino kyatandika oluvannyuma lw’okukola oluyimba lwa ‘yitayo’ era nga luno lwakola bulungi nnyo

Chosen Blood bweyabuuzibwa oba nga baagalana ono yaddamu nti tayinza kusuula mukisa guno bwegubeera nga guzze kubanga Nwagi mukazi mulungi nnyo nnyo nnyo

Kati ne Nwagi olwabuuzidwa yategeezezza nti Chosen Blood musajja amusanyusa ennyo era nti amuwuliza nti ayagalwa

Loading...