Sisobola kwetondera Bebe Cool kubanga yeeyatandikawo olunyalo luno , Yaalina okuvaayo yeetonde:- King Saha awandudde omuliro eri Bebe Cool

Ku ntandikwa y’omwaka guno omukulu Bebe Cool nga bulijjo yavaayo n’afulumya list y’abayimbi abasinze okuyimba mu mwaka era nga eno yaleeta obuzibu mu bayimbi nga kwogasse n’abawagizi

Mu list ya Bebe Cool, yateekamu King Saha naye namulabula okuva ku njaga bunnambiro era nga kino tekyasanyusa Saha wadde naakatono era yavaayo natandika okuvuma Bebe n’okumuyita amannya mangi agavoola

Kati nno Saha yavuddeyo nategeeza nga bwatagenda kwetondera Bebe wadde n’olunaku olumu bweruti era nti wamukwasaganya mu bwangu

Mu bigambo bye yategeezezza bwati “I know most people esp’ the fans are not happy with this saga & I apologize coz that has never been my way of handling things. Babykul’s criticizing me had a lot of hidden intentions which u’ll know in the long run. So for now, I am begging u kindly to allow me feed u musically as I deal with this fool personally,”

Please follow and like us:
error0
Loading...