Jebuvuddeko twabategeeza nti mwana muwala Rema Namakula yavaayo nategeeza nga bwagenda okukola ekivvulu ku lunaku lwa valentine olubeerawo buli nga 14 feb eraokuva ono lweyalangirira nekitandika okwogerwako nti Kenzo naye waakukola ekivvulu ku lunaku lwerumu
Kati nno Eddy Kenzo yavuddeyo naakakasa ssi waakukola kivvulu kyonna ku lunaku luno kubanga tayagala kwonoona lunaku lw’eyali omwagalwa we Rema Namakula
Wadde nga ekivvulu kino kyalikutte nekiyitirira , Kenzo yategeezezza nti tekimujja nga nako wadde mu bwongo kukola kivvulu ku lunaku luno