Olutalo olupya lubaluseewo wakati wa Rema ne Kenzo, Kigambibwa nti Rema yasinzeeyo ebyapa bya Kenzo okufuna ensimbi

Kirabika nga ensonga zino zikyalina akabanga okubeera nga ziggwera ddala era nga lwatandika oluvannyuma lwa Rema Namakula okuvaayo natwanjulira omusajja omulala nga ono ye Hamza Ssebunnya era nga kirabika nga tekyayisa bulungi Kenzo

Kigambibwa nti Ssebunnya ne Rema baakola omukolo naye mbu nga beewola sente nnyingi okusobola okugukola era nga kigambibwa nti bano baatunda ku bintu byabwe okusobola okusasula

Kigambibwa nti amabanja gaali mangi era nga kino kyawalirizza Rema okusinga ku bimu ku byapa bya kenzo okufuna loan okuva mu banka emu okusobola okumalayo amabanja gano era nga kino bwekyagudde kenzo matu yanyize nnyo

 

Recommended For You

About the Author: admin