Omwana oyo namusonyiye kubanga mussiru ate muto :-Chagga ayogedde ensonga lwaki yasonyiye Weasal

Oluvannyuma lw’okufa kwa Mowzey Radio, omuyimbi Weasal Manizo baayawukana bubi nnyo n’eyali manager waabwe Chagga era nga bano beeyogerera ebigambo ebisongovu era nga babadde bamaze ebbanga nga teboogera.

Chagga yayita Weasal okubeera omunafu ate Weasal naayita Chagga omunyunyusi era bano nebaawukana

Kati kirabika nga kino kyakomye ku lunaku lwa birthday ya Radio wali ku maka gaabwe aga neverland wali e Makindye

Chagga yategeezezza nti oli yamala ebbanga ddene nnyo ne Radio and Weasal sso tekyamubeeredde kizibu nnyo okusonyiwa Weasal

Recommended For You

About the Author: admin