Omuyimbi nga ono yoomu ku baggwako edda era nga ono ye Jenifer Full Figure lumu yaliko omu kubawagizi ba People Power era nga yoomu ku baali basinga okwogera ennyo mu kibiina kino naye tetwamanya ngeri gye yajaabuliramu
Ono olwavaayo yatandikirawo okulumbagana abakulembera ekibiina kino nabawagizi baakyo era nga ono yavuddeyo nabalabula nti family zaabwe zikyadaaga nnyo nga bafudde bwebataagoberere mateeka
Kino kiddiridde okuttibwa kwaba nakibiina kino omuli Ritah Priya nga ono kigambibwa nti yatomerwa mmotoka era noomulala Daniel Kyeyune nga ono yakubiddwa ssasi mu liiso