Bambi!!! Omuyimbi Fille aziddwayo mu Rehab ku mpaka. Bamukutte nga mubbi

Emyezi mitono nnyo emabega , eyeeyita King of the Mic omukulu Mc Kats yatwalibwa mu Rehabilitation wali e Bukoto wadde nga ono oluvannyuma yaddukayo era nga yatoloka butolosi

Kaakati kirabika nga ekintu ky’okunywa enjaaye bakirimu ne maama w’omwana we era nga agaakatugwa mu matu galaga nti ono naye atwaliddwa mu rehabilitation okujjanjabibwa

Kinnajukirwa nti ono agambibwa okubeera nga yoomu ku bayimbi abakazi abasinga okukoona akayaga era nga kino yeemu ku nsonga lwaki n’omuziki atuwadde mutono nnyo nnyo

Recommended For You

About the Author: admin