Abavubuka, Yesaawa Mukole Ebintu Byomugaso Nga Mukyaalina Amaanyi – “Mugolokoke, Akaseela Kokukungula Kanaatela.” 

By:Shifrah Kayaga: Abaganda bagamba nti gakuweebwa akwagala naye no’mwami Isaac Kigozi talutumidde mwana kunsonga yabavubuka abakyeebasse.

Kigozi yomu kubatandikawo East African Patners ella nga yye CEO wa E World Media Group, wabula, ekigendelelwa kya kampuni zinno kyaali kyakulaba nga abavubuka bonna benyigila munsonga yokuffuna ekyokukola

Omwami kigozi ayongelako nti banji besibye mu betting kumyaaka emitto kyoka nga wanno webandisingidde okukola emilimu jomuntuuyo.

“Banji baswaamye byabakadde baabwe byebanamulekela nga Baffudde nebelabila nti omuntu yenna Alina okweekolelela okubeela obulunji”

Kigozi ategeezeza nti singa abantu bamanya omugaso kwokubeela abavubuka, bajja kweyagala nyo ella nobumenyi bwamateeka bujja kugwaawo mpola mpola olwo bulyoomu alye kukyeyasigga.

Loading...