Producer Diggy Baur n’omuyimbi Jose Chameleone tebali mu nkolagana nnungi mu kiseera kino oluvannyuma lwokulwanagana okwabadde ku Sabula Records wali mu Luwafu e Makindye
Ekyavuddeko olutalo luno telunaba kumanyika wadde nga abaabaddewo bagamba nti Baur yagaanye okuta ennyimba za Jose era nga kino kwekwavudde nabe
Okusinziira ku butambi obubadde buyitaayita Buar agamba nti Chameleone yalumbye naakubaakuba Producer we amanyikiddwa nga Acram olwokugaana okukola oluyimba lwe
Ono era yayongeddeko nti ekitone kya Chameleone singa kyaggwawo dda naye mbu Chameleone yajja amwegayirira era mbu singa ssi ye singa Chameleone takyalina kyali wano mu ggwanga