‘Bugingo  otuswazizza nyyo’ – Kayanja ayanukudde Bujingo

Bugingo azzeemu okulumba mukazi we Teddy Naluswa nti kati yeerippye ku musumba Robert Kayanja aludde nga talina kalungi kaayagaliza Bugingo. Mu kusaba kw’omu ttuntu eggulo, Bugingo yavudde ku bye yabadde asoose okwogera ku Ssande nti takyaddamu kwogera birumya famire ye.

Yalumbye Teddy okwekulubeeseza ewa Kayanja n’agattako ne muwala we Doreen gwe yagambye nti ye yamugoba awaka e Kitende. “Buli wantu Doreen yateekawo obuuma obukwata amaloboozi ne mu kaabuyonjo ng’ekigendererwa kumanya buli kye nkola.

Omuwala gwe nnasomesa mu masomero g’ebbeeyi okuli Kings College Budo, akola atya ebyo? Kye nnava nva awaka”, bwe yategeezezza.

Kyokka Omusumba Robert Kayanja bwe yabadde mu kusaba kw’okwebaza olw’ekkanisa ya Seeta Miracle Centre okuweza emyaka 12 yagambye: Abalokole tuswadde olw’amawulire ga Bugingo agasasaanye ensi yonna Ekirungi ensonga tuzimalirizza era we njogerera nga Teddy Naluswa yazzeeyo dda mu kkanisa ye mu kusaba.

Ebyo Kayanja yabyogedde essaawa zigenda mu 11:00 ez’olweggulo mu kiseera okusaba kw’ewa Bugingo e Makerere, we kwaggweeredde.

Mu kusaba kuno Teddy yatuuse nga tewali amusuubira n’akwetabamu era Bugingo yabadde alamusa ku bantu bwe yatuuse ku Teddy n’amusika mu mukono. Eggulo, Bugingo bwe yalinnye ekituuti yatandise na kusaba n’addako okubuulira.

“Teddy Naluswa okugenda mu makanisa amalala agaludde nga gatwogerera amafuukuule yakoze nsobi”, bwe yagambye. Ku Lwomukaaga, Naluswa yeetabye ne bakyala banne abali mu buweereza mu kusaba okwabadde ku Miracle Center ewa Kayanja.

Okusaba kwategekeddwa muka Kayanja, Jessica Kayanja ku mulamwa ogwatuumiddwa ‘Hadesa must Stay’ ne basabira kye baayise sitaani eyabadde ayingiridde amaka ga Bugingo. Bugingo kino yakivumiridde n’agamba nti, bwaba yabadde ayagala kuzza mirembe wakati waabwe, teyandigenze mu makanisa malala kutandika kumuvvoola.

“Waakiri yandigenze mu kkanisa endala n’atagenda mu kkanisa gy’amanyidde ddala nti basekeeterezi, abalabe b’ekkanisa ya House of Prayer Minisitries International.

“Nnamwewuunyizza okumulaba mu kkanisa ng’akomyewo kubanga omuntu alinamu ku magezi yabadde tasobola kudda mu kkanisa ng’amaze okukola ekintu ekifaanana bwe kityo”, bwe yategeezezza. Kyokka ku Ssande bwe yabadde abuulira teyayogedde kigambo kyonna kirumba Teddy.

Bugingo yakyukidde abagoberezi abatinkiza ne Naluswa n’abalabula okukomya okutijja n’omuntu bwe batakkaanya n’agamba nti, okwo kubeera kumulyamu lukwe. N’agamba nti abanaasigala nga batijja ne Naluswa bagenda kufa omu kwomu. N’agamba nti takolagana na bantu ba nkwe n’abawa omukisa bwe baba tebagenda kukyusa, beegobe mu kkanisa ye.

Yayogedde ku mbiranyi ne basumba banne kati abatinkiza ne mukazi we, ng’okumuwalana kuva ku masimu ge bamukubira okuva mu maka g’obwapulezidenti. Ng’ate banne abalowooza nti be bandibadde ku mwanjo ewa Pulezidenti teri abanyega.

Gye buvuddeko Bugingo yeewaana nti ye musumba w’abalokole yekka eyayitibwa ku mukolo gwa mutabani wa Pulezidenti, Muhoozi Kainerugaba ng’ajaguza amazaalibwa ge, ye yasaba essaala eyaggulawo omukolo era ye yasaba eyaguggalawo.

N’agamba nti eggwanga lirimu abasumba bangi naye tebaayitibwa. Yagambye nti yasooka kuwulira lugambo bwe yagenda okusabira ekizimbe kya URA ekipya ne Pulezidenti kwe yali.

Bwe yagasseeko okusaba ku mukolo gwa Muhoozi awo we wasibukira ddala empalana. Yagasseeko nti buli kyakola akikola nga Bugingo talina muntu yenna amuli emabega ng’abasumba abalala mu ggwanga.

Yalumbye Doreen Kirabo nti, omwana gwe nnaweerera mu masomero ag’ebbeeyi okuli Budo ne Makerere n’akuguka mu byamasimu, mmwewuunya kubanga amaze emyaka 10 nga buli kye njogera ne bwekibeera kya kyama kitya, akikwata ku butambi.

“Ndi mweraliikirvu, bandiba nga baankuba dda ebifaananyi ebiswaza bye bayinza okuteeka ku mitimbagano gya yintanenti essaawa yonna. Sigenda kudda mu maka gye nnadduka emyaka esatu emebaga olw’omuliro ogwaliyo ogwalimu n’okwagala okumpa obutwa”, bwe yagambye.

N’agattako nti ebiwandiiko by’ekkanisa n’ebirala eby’omugaso yabireka mu maka ge e Kitende, mukazi we ne muwala we Doreen gye baabiggya ne babiteeka ku mikutu gya yintanenti. Okudduka mu nnyumba yadduka kutaasa bulamu. Teyadduka kutaasa byapa wadde emmaali ye.