MIKWAANO NSABA KUMAGEZI: BBA WAMUGANDA WANGE YANKWAANA OKUKAKANA NGA AFUNISIZA OLUBUTO – ENSONGA ZINO NZIGAMBE MUGANDA WANGE OBA NSILIKE KINO KIBE KYAAMA KYANFE

By: Muto wa Senga: Nbalamusiza nyo bamikwaano, amanya agange sijja kugoogela naye nga bambi nsaba buyambi bwamwe. Ba wamuganda wange omukulu yanfunisa olubuto naye kati simanyi kyakukola.

Nina emyaaka 27 ella nga mbadde ntela okubeela ewa muganda wange ebiseela ebisinga. Wabula, lwaali lumu ba wamuganda wange natandika okunfaako mpola mpola ella nga kino tekyakosa muganda wange wadde.

Saamanya nti kungeli omusajja ono jeyali anfaako, yalina ekigendelelwa. Naye lumu, ono yasobola okugamba ekyaamuli kumutima ella bwaatyo nanemelako. Lumu yantwaala out ella bwetutyo twanya okutuuka okutamila okukakana nga ono asuze mukazigo kange jenali mpangisa.

Ebanga bwelyaayita, nesanga nga embeela zange zikyuuse ella nasalawo okugenda nekebeze okukakana nga ndi lubuto. Namanya nti engeli jetwaalinamu akaseela akalungi nomusajja ono ate nga okuva olwo nali seebaka ngako namusajja mulala jena, nategeela nti olubuto lwaali lwamulamuwange.

Wenjogelela bino nga ensonga zinsobedde, Muganda wange ampa buli buyambi naye nga bwagamba mugambe nayini lubuto kuba nina okutandika okubeela naye engeli jendi mumbeela eno. Amazima gali nti ntide omugamba.

Omusajja bwenamugabako yantegeeza nti agenda kumpa buli kika kyabuyambi ella nolubuto yye alwagala lubeelemu.

Mikwano nkoleki, ensonga nzigambe muganda wange oba nkume kyama paka kufa.

Nsaba kumagezi

Recommended For You

About the Author: admin