Nwagi abadde ampa nga ebipale bye eby’omunda ebigubye wakati mbu mbyoze ate nga tansasula sente zange- Omukozi wa Winnie Nwagi awandudde omuliro eri abadde mukamawe

Omuyimbi wa swangz avenue era nga ono ye Nakanwagi Winnie  amanyikiddwa ennyo nga Winnie Nwagi yavuddeyo nakubaakuba omukozi we era naamusambasamba kumpi kwagala kumukutula nkizi mu mugongo era bambi omukozi yaddukidde ku poliisi okufuna obubudamo kwossa n’obuyambi.

Omukozi ono leero avuddeyo natutegeeza kiki ekyajjako Nwagi waya era natugamba nti butayagala kumgambako kyekyamukubya. Yatutegeezezza nti Nwagi abadde nga amuwa obuwale bwe obwomunda ate nga bugubye wakati kyokka nga bwamugambako nga luba lutalo lwenyini. Teyakomye okwo naatugamba nti Nwagi tayagala kusasula bakozi be.

Tujjukira nti Nwagi aze yeetaba mu buvuyo obuwerako nga okukuba wansi essimu y’omuwagizi n’okulwanagana nga neeyali bba nga kwotadde n’okulwana nga mu mabaala.

Abaaye, zino zinaaba z’empisa ze oba nga bamukyokooza bukyokooza?

Recommended For You

About the Author: admin