Senyonyi mwennyamivu ku kafiyu wa bodaboda

Omubaka wa Nakawa West mu palamenti Joel Senyonyi  yeemulugunyizza ku kya Gavumenti okugaana aba bodaboda okukola ekiro ne yeebuuza  oba ddala obulwadde bwa Corona butambulira ku bodaboda ate ekiro!’’.

 

Yagambye nti eggwanga bwe libeera lyaggulwawo ate kibeera kya bulyazaamaanya nnyo ababodaboda okusigala nga baggaliddwa wabweru mu kiseera mwe balina okukoleramu.

Senyonyi  yayongeddeko nti ebifo ebimu nga ebisanyukirwamu byaggulwa nga bino bikola ne mu budde bw’ekiro kyokka n’ategeeza nga bwe byolekedde okufiirwa bakaasitoma olw’abantu abamu okutya okugendayo mu budde bw’ekiro olw’okubulwa entambula enaabazzaayo nga ne tax zibeera ziweddeko ku kkubo.

Yagambye nti  omulimu gwa boda oda gulina okutunulwamu nga bukyali kubanga mukulu  nnyo mu kukulaakulanya ekitundu n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu.

Asabye abakulembeze bonna okugattira awamu eddoboozi okukakasa nti bbooda ziggyibwako kafiyu olwo eggwanga liddemu okukola obulungi emirimu.

Recommended For You

About the Author: admin