MinisItule y’ebyenguudo n’entabula eyimirizza mbagirawo emirimu gya kampuni esaabaza abantu eya link bus services, oluvannyuma lwa bus ya kampuni eno okugwa ku kabenje olunaku lw’egulo omwafiiridde abantu abali eyo mu 20, minisita Katumba Wamala agamba nti kampuni eno eyimiriziddwa okumala sabbiiti 2.
olunaku lweggulo bus ya kampuni ya link eyabadde okubyeko obugule bw’abantu yagudde ku kabenje ddeka bussa ku luguudo lwa Fort portal -kyenjojo nemufiiramu abantu 20. Wabula Omukwanaganya wa kampuni ya link Alinde Best agamba nti ekyokubawumuza kigidde mukassera nga nabo babadde mu kwetekeratekera okwekeenenya ekizibu ekiviirako bus zabwe okufuna obubenje.
Ono agamba nti kampuni ya Link yakutwala obuvunaanyizibwa okulabirira abo bonna abafunye obuvune mukabenje kano saako n’okubasasulira obujjanjabi. Kampuni ya LINK nsaale nyo mukusabaaza abantu okuva e K’LA Fortportal ne Mubende era ng’okubayimiriza kyakukosa nnyo abasaabaze.
Avunaanyizibwa ku kampuni ya LINK mu bitundu bye kasese Businge James asabye abasaabaze okubeera abagumiikiriza nga minisitule y’ebyentambula bwemaliriza okunoonyereza kwayo.
Abasaabaze balabiddwaako nga basobeddwa ekka ne mukibira ku woffisi za kampuni eno wano mu kampala. Abel Abigaba ono nga akola gwakuyita basabaaze agamba nti okugala woffisi eno kibakosseza byansuso. Embera eno yemu ne mubitundu bye Kasese bus za link gyezisinga okukolera.