Okuva ensi yebisanyusa bweyagulwawo abayimbi nebakirizibwa okudda ku stage basanyuse abawagizi babwe, ebiwuninkiriza bingi ddala ebize bilabibwako nga bino bikolebwa abawagizi nabayimbi benyini.
Wabula teri kisinze kulabibwako nga ‘maddu’ abawagizi nabayimbi gebaze balagako nga bano buli omu yepikira mune. Kino kyayongedde okweyoleka olwomuwagizi atategerekese ki kyamutanudde nga omuyimbi Gravity Omutujju ali ku stage ayimba ne ‘namudigu’ we.
Mwana muwala ono eyakula nawola yabadde ku stage nga yebitigula ekyatanudde omuwagizi okuleeta ekyupa yomwenge nayagala okujimutekamu ekyaletedde Gravity okumuwa ensambagere mu maaso.
Kino wabula kirese abawagizi abawerako nga banenya Gravity olwekikolwa kino nga bagamba ye yabaleetera okubikola.