Ddala Museveni obusungu abujja wa? Bibino banayuganda byebamukoze ebimunyiza

Pulezident Yoweri Museveni ayongedde okutabukira abantu abategezezza nti yafudde nagamba nti ‘bagwagwa’ era basanira geyeena.

 

Bwabadde abogerako teyalaze bukambwe kyokka engeri gyeyalonzemu ebigambo ye yalaze ekimuli ku mutima. Ebigambo bino birimu okubakwata, okubegana ne geyeena.

“Tulina ekizibu. Sikyabyakwerinda wabula kya basirussiru, emitimbagano, babadde bagamba nti Museveni yafudde. Bwe nagenze ku lwe Bombo abantu baabadde balingiza mu mmotoka kubanga wabaddewo abambise,” Museveni bwe yagambye.

Olwo mu bukambwe nagattako; ”ab’ebyokwerinda batekeddwa okumalawo ekizibu ekyo…okuzuula mu bwangu eyatandikiriza amawulire ago…bakukwate, bazuule wooli bakufune”.

Awo nalangirira nti “bwoba oli mu Bulaaya eggwanga likwegane…ogende mu geyeena…”

Asinzidde Kololo ku Lwokuna mu kulayiza Baminisita nagamba nti tayagala bantu bamalira banabwe biseera nga basasanya amawulire ag’obulimba.

Wabaddewo abantu abamubise nti mufu abalala nebagaamba nti mulwadde asigaddeko ekikuba ku Mukono olwo ne batandika okusagambiza nga bwe bajaganya nti “Katonda abajjukidde.”

Eggulo ku Lwokusattu ng’ayita mu Munnamawulire we, Lindah Nabusaayi, yalagidde ekitongole ekilondoola eby’empulizaganya ekya Uganda Communications Commission (UCC) okuzuula abatambuza amawulire ‘g’okufa kwe”.

Nabusaayi yafulumiza ekiwandiiko eri Bannamawulire ku Lwokusattu July 7, 2021 nategeeza nti mukama we abadde takyalabika nnyo mu bantu kubanga akolera ku mitambagano mu mbeera eriwo ey’okwewala Covid19.

“Pulezidenti emirimu agikola ayita mu mawulire n’emitimbagano,” Nabusaayi bwe yagambye.

Nagamba nti Pulezidenti ali katebule, emirimu agikolera ddala bulungi era akyagenda nti ku Lwokuna agenda kuggulawo olukungana olwokukuza olunaku lwa African Integration Day mu kitiibwa kye nga President wa Uganda.

Wabaddewo akabugutano ku mikutu gya Facebook, Whatsapp, tweeter ne Instagram ng’abantu babika Pulezidenti Museveni. Byatandika wiiki bbiri emabega bwe babityebeka nti yali addusiddwa mu Girimaani nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okukwatibwa Covid19 kyokka nga June 27 yagenda e Munyonyo naggulawo olukungaana lwa World Health Summit.

Ku Lwokubiri yagenze e Matugga n’omumyuka wa Pulezidenti w’e Kenya, William Ruto ne bagulawo ekkolero ly’eddagala.

Recommended For You

About the Author: admin