Nsaba kumpa ku magezi, taata wange omuto yatandika okunkwana oluvannyuma lwa maama wange okufa era agamba mbu nze nina okudda mu bigere bya nnyange era bwenagaana ayagala nange kunzita. Bannage nkole ntya?

Amannya agange nze Nakabuye Maggie era nga naakaweza emyaka 20, kitenge owaddala yaffa nga nina emyaka 9 era oluvannyuma lwa kitenge okufa, twakaluubirizibwa nnyo nze ne maama wange mu mbeera yookuyita mu bulamu bwa bulijjo kubanga ba ssenga bange tebaali bangu era nga baatugoba mu nju kitenge jeyaleka atuzimbudde olwo nno nga wayiseeyo emyaka 3

Era nno munnange kwekujja okusenga mu kibuga kampala era nga muno twamala myaka nga 7 nga maama atunda busooli ku kubo eyo jeyajja omusajja era nga batandika kweganza era waayita mbale nga nnyange agwa mabbabbanyi nga antwala wa musajja kutandika kubeera eyo sso teyamanya nti kino yali atunze bulamu

Omusajja ono mugagga fugge era yatuwa nga buli kye twagala era nanzizanayo okusoma naye bambi waayita mbale nnyange naafa era mu lumbe lwa maama wenawulirira abakyala basatu nga banyumya nti omusajja yali tasobola kumala na mukazi myaka ebiri nga tanaffa era mbu maama wange yali wa kuna era ye yafia nga yaakamalayo omwaka gumu neekitundu.

Obuzibu obunene ssi bwa kufa kwa maama wange naye ate bwa kitenge ono omuto kutandika kunkwana, yasooka kumperereza mpola mpola nga ampita mukyala nendowooza nti oba asaaga.Naye nagenda okulaba nga afuuse serious.

Nasooka nengaana ogwasooka nalabika nga ali bulungi nakyo naye nalemerako kati bwenagenda nga mugaana emirundi emirala natandika okuntabukira mpola mpola era nga anyiganyiga . yatandika nookunkuba nga mbu olwokuba mugaana .

Kale naalibadde nga amukirizza naye ate obulamu bwange kuba tamala na bakazi myaka ebiri ate nga neekirala yali kitange

Kati awo wembasabira ku magezi banange , nkole ntya?

Recommended For You

About the Author: admin