Nekakasa 100 ku kinaakyo Olubuto lwa Rema rwange, Julio owa B2C Alemeddeko

Bwe tubeera twogera ku mawulire mu “entertainment” mu Uganda, tetuyinza kulekayo lya Rema Namakula kukyawa munne Eddy Kenzo ate naabukira egaali empya eya Hamzah Ssebunnya ono nno nga alina abakyala abalala babiri.

Kati nno gyebuvuddeko kibadde kiteeberezebwa okuba nga yagenda okuva ewa Kenzo nga alina olubuto olutali lwa mmere wabula olw’omwana era nga tekinamanyika bulungi nannyini lubuto luno oba nga lwa Kenzo oba Hamzah

Tubeera tukyali kwabo ate nga ne Julio Delvard owa B2C naye nga yeesunga omwana ono agenda okuzaalibwa.Kinajjukirwa nti kyayogerwako nti bano ababiri beekuba amatooke mu kiseera webaakolera oluyimba lwabwe olwa Gutujja.

Embuto za Rema zizze zikaayanirwa enfunda nnyingi era nga n’olw’omwana lwakayanirwa abasajja nga Kenzo, Walukagga, Chris Evans nabalala

kati ekyebuuzibwa , buno bunaaba bwenzi oba nga Rema yanaaba olweza?

Recommended For You

About the Author: admin