Mubiseera omugagga Sk Mbuga bweyali mu kkomera e Dubai ne Sweden, omugagga omulala nga ono ye Bryan White yakyekola mu kusaasanya sente era nga ono yaziyiwa nga buyiyi pakka ekiseera bwe kyatuuka nga ziringa ezikendedde.
Ku lunaku olwokuna Sk Mbuga nga bali wamu ne Sipapa balumba Bryan White wali ku AUTO SPA wali e Munyonyo era nga wano batandise okuwaanyisiganya ebigambo ebisongovu
Tebaakomye nno wano nebeegwa mu malaka era wano nga abakuumi b’oku bbaala beebabataasizza okwekuba
Envuuvuumo zigamba nti olutalo luno luvva ku ssente za muzeeyi zaabawa okusaasaanya