Ku makya ga leero Poliisi eyiye basajja baayo abawanvu nabampi ku maka ga Bobi Wine agasangibwa e Magere ku lw’e Gayaza era nga eno ebadde yaakumutangira kugenda ku beach ye eya One love beach e Busaabala ku kivvulu kye yabadde ategese
Bobi nno naye tabakaayanyizza era ayise manju nabatolokako era tebategedde waayise nga ne waali saawa zino tebamanyiiyo naye nga kilowoozebwa nti agenda Busaabala
Bobi yategeka ekivvulu kino emabega kko era nawandiikira poliisi naye teyamuddamu kintu kyonna ekyalaga nti yali emugaanye
Kino kyegasse ku bivvulu ebingi ebiremeseddwa Bobi Wine okuvva lwe yatandika okwenganga Muzeeyi