Sharitah Namuyimbwa ono nga amanyikiddwa nnyo nga Bad Black yeekutte akatambi nga akyalira ensiko era kigambibwa nti kino yakikoze kwongera kunyiza Minista Peace Mutuuzo eyavaayo naagaana abakyala okukyalira ensiko
Kinajjukirwa nti ono yavuddeyo naavuma minisita Mutuuzo era naalagira ddala nti tali ku side ye ku nsonga zookusika n’okukyalira ensiko
Kinajjukirwa nti akaseera akayiseewoko katono nnyo Minista Peace Mutuuzo yavaayo naategeeza nti aguddewo olutalo ku kukyalira ensiko wadde nga ensonga entuufu teyajiwa lwaki