Jose Chameleone yagezaako okutta abakozi bange babiri naye nga mbataasa. Era ku ssawa zino nemmala nfa mukimanye nti Chameleone yanzise

Omuyimbi Jose Chameleone era yazzeemu okulwana nga ku luno yalwanye ne Producer Diggy Baur era nga bano balwanidde wali ku studio ya SABULA RECORDS esangibwa e Makindye Luwafu

Kaakati Diggy Baur abadde awanda muliro ennaku ezo zonna era ono yategeezezza nti naamala affa ayagala bannayuganda bakimanye nti Jose Chameleone yabeera amusse era nategeeza ne Poliisi kwossa ne Gavumenti

“I want to make this clear, if i ever die,  Chameleone will have killed me. I want the government to know that,” Baur bwatyo bweyagambye

Kinajjukirwa nti Uganda yaakafiirwa abantu abeebitone bangi nga omugenzi AK47, MOWZEY RADIO, DANZ KU MAPEESA naabalala bangi

Mu bbanga lya Sabiiti bbiri famile ya Mayanja yaakalwana ne ba producers babiri nga Weasal yali yaakava okukuba Producer Genious Goddy

Loading...