Namutwalako omukazi kati n’enju njaagala:- Dr Hamza Ssebunnya yewaanye nga bwayagala okutwala enju ya Eddy Kenzo

Olutalo wakati wa Eddy Kenzo ne Dr Hamza kirabika nga lukyali lwamaanyi nnyo oluvannyuma lwa Hamza okutwalako Kenzo omukazi ate nga akyalina neebirala byayagala

Kino kiddiridde Kenzo okuvaayo naategeeza nga bwali ow’okutunda ennyumba ye esangibwa e Seguku ku lwe Ntebe oba ssi ekyo okujipangisa

Kati Dr Hamza Ssebunnya olunaku olwa leero avuddeyo naagenda ku mukutu gwe oga facebook nawandiika nti ye ennyumba y’e Sseguku agyagala nnyo era nga asobola okujigula kubanga mbu muwalawe Amal ajaagala nnyo ate mbu ne mukyalawe akyagala nnyo

Eddy Kenzo tanaabaako nakintu kyonna kyayogera ku nsonga eno naye nga kyonna kyekiri kyanazza kiyinza obutaba kyangu

Recommended For You

About the Author: admin