Omuyimbi Bobi Wine wadde nga kati munnabyabufuzi azze nga agaanibwa okukola ebivvulu ebbanga eriyiseewo era nga kino kimuzzizaamuko emabega mu by’ensimbi wadde nga ate mu by’obufuzi kimutadde waggulu nnyo
Kati ono kirabika nga agenda kuddamu okukolayo ekivvulu naye lwakuba tekinnamanyikwa oba nga kinaabaayo olw’ensonga nti ono ye tannakikakasa.
Bino byayogeddwa muyimbi munne bwebatalima kambugu Bebe Cool era nga ono muganzi eri Pulezidenti Museveni ekitegeeza nti muzeeyi amuwuliriramu nnyo
Bino yabyogedde bweyabuuzidwa oba asobola okukola battle endala ne Bobi era ono nagamba nti asobola naye nga amaze kusasulibwa obukadde 400