Ziizino ensi za Africa eziyinza okusinga okukosebwa ekirwadde kya Corona Virus. Olowooza Uganda eri mu kyakumeka mu lukalala luno

Amawanga gonna okwetoolola ensi gali mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde ki nnamuzisa ekya Corona Virus ekyabalukawo emyezi mitono ejiseewo emabega

Ekirwadde kino kiruma nga ssenyiga wadde nga kkyo kitta mu kaseera mpaawo kaaga era nga kyatandikira mu bitundu bya China oluvannyuma natandika okusaasasna mu nsi ez’enjawulo

Ekirwadde kino kyatuuse ku lukalu lw’omwana w’omuddugavu era kyasoose kukasibwa Nigeria.

Okusinziira ku kunoonyereza, kulaga nti ensi ya Egypt. South Africa ne Algeria z’ensi za Africa eziyinza okusinga okukosebwa ekirwadde kino olwokuba nti eno abantu batambula nnyo okufuluma n.okuyingira amawanga era nga kijja kubeera kizibu nnyo okukirwanyisa

Recommended For You

About the Author: admin