Nabagamba kusigala waka so ssi mu nnyumba zammwe:- Pulezidenti Museveni awabudde abantu ku Kafiyu

Ekirwadde kya Covid 19 nga kino kileetebwa akawuka ka Corona virus kakyayongerra ddala okusaanyawo abantu era nga Uganda eri mu ku kalwanyisa butasaasana , jebuvuddeko Museveni yavaayo nalangirra amateeka amapya ku nsonga eno

Mu mateeka gano mwalimu ne kafiyu era nga eno etandika ku saawa emu eyakawungeezi era nga buli muntu alina kubeera waka we

Abantu abamu baali baakitafuta bulala era nga abamu essawa zino babeera mu mayumba gaabwe naye avuddeyo naalambika nti basibola okubeera mu luggya , akabalaza  era ne mu nju zaabwe era nti kino awaka kye kitegeeza

Pulezidenti akyayogera ko eri eggwanga mu kiseera kino era tukuleetera amalala mangi nnyo

Recommended For You

About the Author: admin