Oluvannyuma lwa mwana muwala Shanita Namuyimbwa amanyikiddwa ennyo nga Bad Black okubanja gavumenti era nemuweerawo sente , n’omuyimbi Big Eye naye avuddeyo nawawaabira Gavumenti mu mbuga z’amateeka nga naye ayagala ku sente
Omuyimbi ono azze akaabira gavumenti emirundi migi nnyo okumuyamba kubanga yajikolera wadde nga teyakikola nga nogusembyeyo yabadde agisaba kumuyamba kutaasa nju ye
Big Eye kaakati alabye Gavumenti yeesuuliddeyo gwannagamba nasalawo ajikube mu mbuga z’amateeka era nga eno mwana wattu ayagalira ddala sente eziri eyo mu bukadde obusoba mu 270 obwa uganda