Olunaku olwaleero abatu abakolera ku mikutu ji mugattabantu basiibye bakola mirimu oluvannyuma lw’omuwagizi wa NRM lukulwe Balaam Barugahara ne munna kisinde kya people power Abitex Musinguzi okulabibwako bonna mu kafubo
Bano baalibibbwako mu kifo ekimu mu kampala era mu kulabika kiraga nti bano baababdde mu nkolagana etagambika era etabangako mu masekati gaabwe
Bano kinajjukirwa nti bazze bakontana nga mu bintu ebitali bimu naddala eby’obufuzi era nga kiteeberezebwa okubeera nga ekyabagassse yensonga yebyenfuna era nga kirowoozebwa okubeera nti bano baabadde n’omusimbi gwe baabadde bagabana okuva mu state house