Muk’omusajja akiguddeko oluvanyuma lwa vidiyo okusanyawo obufumbo bwe mu lunnaku lumu.
Okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula, eraga omusajja omufumbo ategerekeseeko erya Mike ng’aleese mukyala muk’omusajja mu makaage.
Maama Jane agamba nti abadde afuna amawulire nti bba Mike bwenzi era mbu aludde ng’aleeta abakyala mu nnyumba mu kiseera ng’ali ku mirimu.
Omwezi oguwedde ogwa Febwali, maama Jane yateeka kkamera mu nnyumba n’ekisenge, okulondoola bba, okuzuula oba ddala aleeta abakyala mu nnyumba.
Akawungeezi k’olunnaku Olwokusatu, omukyala yafuna amawulire nti bba, alina omukyala mu nnyumba.
Maama Jane yabadde mu bitundu bye Wakiso nga yabadde alina okusulayo.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, maama Jane yakomyewo awaka era yatuukidde mu kkamera ze, okwekeneenya embeera yonna mu nnyumba.
Mu kkamera, yakizudde nti bba Mike yabadde n’omukyala mu nnyumba okutuuka mu kisenge, okutuuka ku makya.
Wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti Mike asukkiridde ejjoogo nga kiswaza okuleeta omukyala mu nnyumba ku buliri bwe.
Ng’omukyala omulala yenna, asobodde okulaga abatuuze vidiyo nga bba ali mu kaboozi n’omukyala muk’omusajja era yamukubye yinki 8 n’enyooka omukka kiro kiramba.
Omukyala muk’omusajja abadde alaga nti alina abaana kyokka tamanyikiddwa ku kyalo.
Embeera eno, ebadde ku kyalo Kazo mu Divizoni y’e Kawempe mu Kampala.
Maama Jane yakoze kyonna ekisoboka okukubira bba Mike essimu kyokka bba yagaanye okukwata essimu.