Omugole agaanye omusajja…….Poliisi erabudde abazadde okweddako ku nsonga y’okunoonyeza abaana baabwe, abantu ab’okufumbirwa oba okuwasa.
Poliisi okulabula, kidiridde omuwala Najjuko Bushura myaka 24, omutuuze ku kyalo Katereke Cell mu Tawuni Kanso y’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso, okuvaayo gye yabadde yeekwese.
Najjuko yabula sabiiti ewedde ku Lwokutaano nga 10, March, 2023 nga yabadde alina okwanjula omusajja Faruk Mugalu omutuuze we Kagoma mu bazadde be ku Ssande nga 12, March, 2023.
Najjuko yali agenze mu saluuni okukola Make-up e Nakivubo mu Kampala, kwe kudduka.
Wabula Najjuko yabadde yeekwese ewa Mukwano gwe mu bitundu bye Makindye, okulemesa emikolo gy’okwanjula olwa famire ye, okuleeta omusajja Mugalu okumuwasa ate nga ye alina omusajja we gw’ayagala.
Kati no, Poliisi egamba nti wadde Najjuko yalabise, abazadde balina okweyambisa omukisa ogwo, okukomya eky’okunoonyeza abaana baabwe, abasajja abalina okubatwala.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Najjuko bwe yabadde awa sitetimenti ku Poliisi y’e Nsangi, yagambye nti ye alina omulenzi ali ku mutima gwe nga yabadde tayinza kusanyusa bazadde ne famire, okugenda n’omuntu nga tamwagala.
Najjuko agamba nti okusinga okulya ebintu by’omusajja, yabadde alina okudduka okutangira omukolo okugenda mu maaso.
Mu kiseera kino abazadde basobeddwa eky’okuzaako kuba agava mu batuuze b’e Katereke Cell, omusajja Mugalu alemeddeko agamba nti ayagala mukyala we Najjuko.