LABA OKUSWALA! Minisita W’e Karamoja Mary Goretti Kitutu Atwaliddwa Mu Kkooti Abitebye Lwa kubba Mabaati.

Minisita w’e Karamoja Mary Goretti Kitutu, atwaliddwa mu kkooti y’abali b’enguzi mu Kampala, ku misango gy’okwenyigira mu kulya enguzi n’okwekobaana okwenyigira mu kuzza emisango. Minisita Kitutu atuusiddwa ku kkooti ssaawa 6 ez’omutuntu, wakati mu byokwerinda.

Olutuuse, alaze obukodyo okwenjawulo, asobodde okutambula okuva mu mmotoka okuyingira kkooti, nga yenna yeebikiridde leesu ku mutwe ne ffeesi yonna, kyokka asobodde okutambula, nga kizibu nnyo okulaba ku mutwe wadde okumutegeera.

Minisita Kitutu yakulemberamu okutwala amabaati g’e Karamoja era kigambibwa, waliwo abantu mu famire ye, abazuulibwa nga balina amabaati ago nga n’abamu, banoonya baguzi.
Abalala, abali ku ‘List’ y’okutwala amabaati kuliko

  1. Jessica Alupo (Amyuka omukulembeze w’eggwanga)
  2. Anita Among (Sipiika wa Palamenti)
  3. Robinah Nabbanja (Ssaabaminisita)
  4. Rebecca Kadaga (Amyuka Ssaabaminisita asooka era Minisita wa East Africa nga yaliko sipiika wa Palamenti)
  5. Rukia Isanga Nakadama (Amyuka Ssaabaminisita owokubiri era Minisita wa guno na guli)
  6. Matia Kasaija (Minisita w’ebyensimbi)
  7. Judith Nabakooba (Minisita w’eby’ettaka)
  8. Dennis Hamson Obua (Nampala wa Gavumenti)
  9. Rose Akello (Minisita w’empisa n’obuntu bulamu) ssaako n’abalala.

Recommended For You

About the Author: admin