ENTIISA!! Jjajja Abadde Asobya Ku Muzukuluwe Ow’emyaka 4 Bamusanze Ajijayo!

Jjajja Muhammuddu Iddi Zingo amanyikiddwa nga Taata Medi myaka 62, atwaliddwa mu kkooti, ku misango gy’okusobya ku baana abato.

Jjajja Muhammuddu nga mutuuze mu zzooni ya Namuli e Bukoto mu Kampala, abadde yakasobya ku baana 5 omuli myaka 2 n’ekitundu, myaka 3, myaka 6 myaka 4 ssaako ne myaka 9.

Abaana yabasobyako omwezi oguwedde Ogwokusatu, okutuusa lwe yasobeza ku muzukkulu we myaka 4 okukwatibwa.

Maama w’omwana, Zaam Zaam Twalib  agamba nti omukadde Muhammuddu kojjaawe era olw’emyaka gye, abadde amuwa ekitiibwa, nga n’abaana akkirizibwa okubatuma ssaako n’okubeera nabo, mu nnyumba.

Nga 26, March, 2023, yasobya ku muzukkulu we era okumwekebejja nga yenna atonnya musaayi mu bitundu by’ekyama.

Oluvanyuma lw’okusobya ku muzukkulu, ate wavuddeyo abaana 7 nga nabo bagamba nti abadde abasobyako era okutwalibwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa, kwe kuzuula nti ku baana 7, 4 kituufu baasobezebwako, okusinzira kw’alipoota z’abasawo.

Maama w’omwana Zaam Zaam Twalib agamba nti omwana ali ku ddaagala kuba omusajja yakebeddwa ng’alina endwadde z’obukaba.

Ate omukadde Muhammuddu  agambibwa okusobya ku mwana, yegaanye ebyogerwa nti abadde asobya ku baana abato.

Muhammuddu agamba nti omusajja yenna nga yakula bulungi ddala, singa asobya ku mwana omuto, tekyetagisa kumutwala mu ddwaaliro okuzuula nti yasobezeddwako.

Muhammuddu agamba nti kiswaza abazadde okutegeeza nti abadde asobya ku baana baabwe ate nga tewali mwana yenna alina bukakafu.

Muhammuddu atwaliddwa mu kkooti ya City Hall mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Joan Tibagozeka ku misango gy’okusobya ku baana abato.

Asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 25, April, 2023.

Wadde abadde agezaako okwegaana emisango mu kkooti, omulamuzi amusabye okusirika kuba emisango gye gyanaggomola ng’alina kwewozaako mu kkooti nkulu yokka.

 

Recommended For You

About the Author: admin