Omuvubuka Akiguddeko, Omusuwa Gwa Waya Gwesibye Ng’ali Mu Nyama!

Omuvubuka abadde anoonya omukwano akiguddeko, akubiddwa essasi mu kugulu era atwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.

Omuvubuka Micheal Diiro myaka 26 ng’avuga bodaboda mu bitundu bye Bukeerere addusiddwa mu ddwaaliro ng’ali mu maziga.

 

Nga 18, April, 2023, ku ssaawa 9 ez’ekiro, Diiro yalinye ekisakaate kya Dr. Rosette Kaweesi omutuuze w’e Butto, Bweyogerere n’essuubi okulaba ku muganzi we Magrate Namata myaka 26.

Wabula famire ya Dr. Rosette yakubidde Poliisi essiimu okuyamba nga balowooza waliwo omubbi ayagala okuyingira mu nnyumba okubba mu kiro.

Poliisi okutuuka, nga Diiro ali waggulu ku kikomera era amangu ddala yakubiddwa essasi mu kugulu, Mu kiseera ng’ali ku ttaka ayayaana, Dr. Rosette yayitiddwa okulaba omubbi abadde agezaako okuyingira mu nnyumba.

Dr. Kaweesi ne Namata okuvaayo okulaba omubbi, amaaso gatuukidde ku Diiro, muganzi wa muwala we Namata ng’ali mu maziga, Mu kiseera nga Namata asobeddwa, Diiro yateekeddwa kabangali ya Poliisi okumuddusa mu ddwaaliro okufuna obujanjabi.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti kiswaza omulenzi omuto Diiro okulumba bazadde b’omuwala okulaba ku muganzi we ekiro ku ssaawa 9.

Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agamba nti wadde Diiro ali mu ddwaaliro mu mikono gyabwe, alina okuvunaanibwa.

Agamba abasirikale okweyambisa obukodyo n’obukugu, y’emu ku nsonga lwaki Diiro n’okutuusa kati akyali mulamu kuba Poliisi yabadde esobola okumukuba essasi ku mutwe era singa kati z’embuyaga ezikunta.

Enanga awanjagidde abavubuka abato abali mu laavu, okuwa abazadde ekitiibwa oba okugenda mu bazadde mu butongole, okulaga nti bali mu laavu ne bawala baabwe okusinga okulowooza okulumba obudde bw’ekiro.

Yabadde laavu oba!

Mu nsi y’omukwano, abantu bakola ebintu eby’enjawulo, okulaga nti ddala bafaayo eri baganzi baabwe, Okusinzira ku Ssenga Kawomera, olwa laavu, omuntu yenna ayinza okukola ekintu olw’obutamanya oba nga tewali kulowooza.

Agamba nti Diiro ayinza okuba yabadde ayagala kusinda mukwano oba ayinza okuba abadde aludde nga yeeyambisa obukodyo obwo, okuyingira okulaba ku Namata.

Kawomera agamba nti abantu okunoonya omukwano okuva eri baganzi baabwe nga tebaliiwo, bangi begumbulidde okuteeka ssente nga bagula abakyala abatunda omukwano.

Wadde Diiro akyali mu ddwaaliro, amawulire galaga nti Namata alemeddeko, ayagala kulaba ku muganzi we, Dr. Rosette y’omu ku basawo abakugu mu ddwaaliro ekkulu e Mukono.

Mu ddwaaliro, Diiro alina vidiyo eziraga nti Namata muganzi we era amwagala nnyo omuli n’ezo nga bali mu kusinda mukwano.

Recommended For You

About the Author: admin