Poliisi y’e Kenya esobodde okuziikula emirambo gy’abantu 21 okumpi n’ekibuga Malindi abafiiridde mu kibira ne baziikibwa lwa Yesu.
Emirambo mwe muli n’abaana abato era okunoonya emirambo kukyagenda mu maaso.
Emirambo gisangiddwa mu kibira kye Shakahola oluvanyuma lwa Pasita w’ekkanisa ya Good News International Church, okulagira abantu okusiiba, okusobola okulaba ku Yesu.
Mu kiseera kino Pasita Paul Mackenzie Nthenge ali mu mikono gya Poliisi era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
Agava mu ggwanga erya Kenya, galaga nti Poliisi yakazuula entaana 58.
Entaana emu kigambibwa mwaziikibwamu famire yonna abantu 5 omuli taata, maama n’abaana basatu (3).
Mr Mackenzie yegaana emisango gyonna era agamba nti ekkanisa yaggalawo mu 2019.
Kigambibwa yasaba abantu bonna mu kkanisa okusiiba, okusobola okulaba ku Yesu.
Poliisi eri mu ntekateeka okukola ndaga butonde (DNA) okuzuula famire zaabwe.