Mu kiseera nga bangi ku bannayuganda baddukira eri abasumba okudda eri omutonzi, nate Pasita Amos Betongora, ayongedde okulaga ekifaananyi ekiri mu basumba abamu.
Sabiiti ewedde nga 15, April, 2023, Poliisi yanunudde abaana 17 nga bali wansi w’emyaka 1-6 ku kyalo Nkoowe, mu muluka gwe Kaliti mu ggoombolola y’e Mende mu disitulikiti y’e Wakiso.
Abaana bazuuliddwa nga bali n’omukyala ku kkubo ku makya nga baali batwalibwa mu kifo ekitamanyiddwa kyokka waliwo ebigambibwa nti baali batwalibwa mu disitulikiti y’e Mbarara.
Mu kunoonyereza, Poliisi yakutte abakyala bataano (5), okuyambako mu kunoonyereza omuli.
Sabiiti ewedde, abaana batwaliddwa okugibwako ndaga butonde (DNA) okuzuula taata omutuufu.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ebyavudde mu DNA biraga nti ku baana 17, abaana 14, baana ba Pasita Betongora ate abaana 3 abaali mu mbeera mbi nga kigambibwa nti baali batulugunyizibwa, tebannaba kugibwako DNA.
Betungura gamba nti olwa Covid-19, ekkanisa ye mu bitundu bye Mbarara yaggalwawo ate yali afunamu nnyo akasente okutambuza obulamu n’okulabirira abaana bonna.
Agamba nti yasaba abakyala bonna abalina abaana, okumuwa abaana be, kwe kusalawo okubaleeta mu Kampala mu kifo kimu, okufuna abayinza okubalabirira nga bali wamu.
Enanga agamba nti mu kiseera kino abaana bakuumibwa mu kifo ekibudabuda abaana mu disitulikiti y’e Wakiso ate Pasita Betongora akuumibwa mu kaduukulu ka Poliisi e Wakiso.
Ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru, Enanga agamba nti Pasita Betongora aguddwako emisango gy’okulagajjalira abaana era balinze ssaabawolereza wa Gavumenti okuwabula, okusobola okumutwala mu kkooti.