OBWENZI! Owa Takisi Bamukutte Ne Muk’omusajja Mu Loogi, Yinki 8 Ebadde Yakabuguma Nebabalemesa.

Owa Takisi awonye emiggo gy’abatuuze, asangiddwa lubona ng’ali mu laavu ne muk’omusajja. Omusajja ategerekeseeko erya Katende ng’avuga Takisi ku luguudo lwe Kampala – Ggaba – Munyonyo – Makindye.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Katende yasangiddwa mu loogi ‘Guest In’ e Ggaba n’omukyala ategerekeseeko erya Sarah.

Sarah mukyala mufumbo mu bitundu bye Lukuli, Makindye era mbu alina abaana babiri (2). Bba ategerekeseeko erya Kityo ng’avuga bodaboda, agamba nti abadde afuna amawulire nti mukyala we Sarah alina omusajja omulala.

Kityo agamba nti Sarah akolera mu Kampala ng’atunda juyisi mu katale k’e Nakasero. Agamba oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti Sarah alina abasajja abalala, abadde yafuna mikwano gye mu bodaboda mu bitundu bye Ggaba, okulondoola okutuusa nga bazudde omusajja amwagalira omukyala.

Ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi, Kityo yafunye essimu nti mukyala we Sarah alabiddwako n’omusajja wa Takisi nga bagenda mu loogi.

 

Kityo okutuuka ku loogi, yatuukidde mu kitabo kya bagenyi, nga temuli linnya lya musajja. Okubuuza abakozi, mu kusooka bagaanye okutegeeza Kityo, ekisenge Sarah mwali ne muganzi we Katende.

Kityo yavudde mu mbeera era amangu ddala omukozi yasobodde okumutwala mu kisenge namba 12. Okutuuka ku kisenge, nga mukyala we Sarah ali mu kusinda mukwano n’omusajja wa Takisi era yasoose kuwulira maloboozi nti ‘oh yaa daddy, i love u’.

Olw’obusuungu, Kityo yakubye oluggi era yaweddemu amaanyi, okusanga Sarah nga yenna ali mu ssanyu ali mu kaboozi.

Yatabukidde Sarah, “Sarah biki bino, guno gwe mulimu, oyagala kundwaza, naye lwaki tomatira, totawana okudda mu maka gange, nze sikolagana na bwenzi’ n’ebigambo ebirala.

Kityo yavudde mu loogi okudda awaka nga yenna ali mu maziga kuba Sarah abadde yakamuzaalira abaana 2 ng’abadde tasuubira nti ayinza okudda mu bwenzi.

Katende yasobodde okufuna omukisa okudduka kyokka Sarah yasigadde mu kisenge kya Loogi nga yenna asobeddwa eky’okuzaako.

Recommended For You

About the Author: admin