Abalwanirizi b’eddembe 11 baddukidde mu kkooti ya sseemateeka, nga bawakanya etteeka okwatekeddwa omukono eryokulwanyisa ebisiyaga mu ggwanga.
Mu tteeka okuteekeddwa omukono omukulembeze w’eggwanga lino , singa omuntu yenna yeenyigira mu kulya ebisiyaga, alina kuwanikibwa kalaba ate omuntu yenna amuyambako okutambuza ebisiyaga, wakusibwanga mayisa.
Mu tteeka, mulimu enjawulo wakati w’omuntu akwatiddwa mu kulya ebisiyaga ng’alina okuvunaanibwa ssaako n’omuntu omusiyazi, naye taba na musango okutuusa nga yeenyigidde mu kikolwa.
Mu tteeka lino, nannyini kifo oba ekizimbe singa akkiriza ebikolwa, okolebwa ku kizimbe kye, singa omusango gumusinga, alina okusibwa emyaka 5.
Wabula abaddukidde mu kkooti kuliko Professor Sylvia Tamale, omubaka we West Budama Fox Odoi, Dr. Busingye Kabumba, nga musomesa w’amateeka ku Yunivasite e Makerere, munnamawulire Andrew Mwenda owa Independent News Magazine, omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu Solome Nakaweesi Kimbugwe, Dr. Frank Mugisha okuva mu kibiina ki Sexual Minorities Uganda-SMUG.
Abalala kuliko Kasha Jacqueline Nabagesera eyali direkita wa Freedom and Roam Uganda-FARUG, Richard Smith Luthimbo – Direkita wa Uganda Key Populations Consortium-UKPC, Eric Ndawula wa ddembe lya buntu ne Williams Apako – Direkita wa Tranz Network Uganda and Human Rights Awareness and Promotion Forum –HPRAF.
Nga bakulembeddwamu munnamateeka Dr. Adrian Jjuuko, bagamba nti ebbago lyayisibwa nga tewali kwebuuza ku bannansi kimala nga ne sipiika Anita Annet Among, yalemwa okulaga obwenkanya ng’akubiriza Palamenti.
Munnamateeka Jjuuko agamba nti n’abantu abagambibwa nti benyigira mu kulya ebisiyaga, tewali muntu yenna yayitibwa mu Palamenti okuwaayo ebirowoozo bye.
Wadde baddukidde mu kkooti, omubaka wa Monicipaali y’e Bugiri, Asuman Basalirwa, agamba nti yabadde akisuubira nti waliwo abayinza okuddukira mu kkooti, naye talina kutya kwonna nti ne mu kkooti, wakuwangula omusango.